Akakiiko ka Parliament akalondoola ebyenfuna by’eggwanga kaagala Minister w’ebyensimbi n’okuteekerateekera eggwanga, Matia Kasaija annyonnyole Uganda w’etuuse mu kusasula amabanja gaayo mu nda mu ggwanga n’ebweru.
Mu June w’omwaka guno okusinziira ku biwandiiko Uganda yalina ebbanja erisoba mu Trillion 73.