Thursday, December 1, 2022
HomeAmawulireOWA SFC YEKUBYE AMASASI NAAFA

OWA SFC YEKUBYE AMASASI NAAFA

 

Abakulu mu ggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga (Special Forces Command) batandise okunoonyereze ku kiviiriddeko omu ku bannaabwe Pte Allan Matsiko okwekuba amasasi agamuttiddewo mu bitundu by’e Ntebe.

Matsiko yabadde ku Quarter guard ku nkambi y’e Kigungu neyeekuba amasasi ku mutwe n’afiirawo.

Omwogezi wa SFC Maj. Jimmy Omara agambye bakyebuuza ekituufu ekyatanudde munnaabwe okwetta.

Omara agambye nti Matsiko talina muntu yenna gweyategeezezza yadde okulewo waakiri akabaluwa ku nsonga eyamwessizza.

Ebikolwa by’abakuuma ddembe okwetta n’okuttingana ensangi zino byeyongedde nga bangi embeera y’obulamu ebalemerera n’ebeesanyaawo n’okusanyaawo bannaabwe.

RELATED ARTICLES

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Most Popular