Akulira Kampuni y’ennyonyi y’eggwanga eya Uganda Airlines, Jenifer Bamuturaki n’abakungu abalala mu Kampuni eno olwaleero tebalabiseeko mu kakiiko ka COSASE nga bwebabadde basuubirwa. Bano bategeezezza nti balina emirimu emirala mingi egy’enkizo egitasobola kulinda bwebatyo nebasaba akakiiko kabalinde okutuuka mwezi ogujja ogw’omwenda. Bano bayongeddeko nti emirimu gya kampuni y’ennyonyi gyabulabe nnyo nga tegisaanye kunoonyerezaako mu lujjudde ewali ne bannamawulire.