Wednesday, September 28, 2022
HomeAmawulireGavumenti yeddiza enteekateeka zonna ez'okuziika n'okomyawo omubiri gw'a Ssaabasumba wabasodokisi

Gavumenti yeddiza enteekateeka zonna ez’okuziika n’okomyawo omubiri gw’a Ssaabasumba wabasodokisi

KAMPALA: Gavumenti yeddiza enteekateeka zonna ez’okuziika n’okomyawo omubiri gw’a Ssaabasumba wabasodokisi eyaffa kunkomerero ya sabiiti ewedde.
Mungeri yeemu Paapa w’eAlexandria asasidde abasodokisi n’ebanna Uganda olwokuviibwako Ssaabasumba nga obubaka abutisse omulabirizi w’eGulu n’obuvanjuba Silvester Kisitu.
Saawa zibadde ziwera musanvu n’ekitundu omusumba Silvester Kisitu nga Ono nga yabadde ajanjaba omugenzi atuuse ku ekeresiya e Namungoona okuva muggwanga lya Buyonaani eyafiriddwa Ssaabasumba.
Ono bwatuuse akulembeddemu ekitambiro Kya Misa ekyetabiddwamu n’eminista owamawulire n’okulungamya eggwanga Chris Baryomunsi, ababaka ba palamenti n’abantu abalala.
Silvester wano wasomedde obubaka bwa Paapa w’e Alexandria eri abakungubazi.
Minista Chris Baryomunsi wano wasinzidde nasoma obubaka bwa pulezidenti saako gavumenti.
Ono ategezezza nga gavumenti bwegenda okutwala enteekateeka zonna nga nakawungeezi bevumbye akafubo.
Akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Mathias Mpuuga nga awerekeddwako ababaka abatali bamu nabo batuuseko mu kifo kino okukubagiza bwebatyo nebatuuka n’okuwagira okuva era akulira ekibiina Kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu.
Mpuuga atenderezza nnyo omugenzi olwokufaayo ennyo kunsonga eziruma omuntu wawansi nazogerako nga bbo tebalina kyebamubanja.
Abakulembeze abenjawulo okubadde ababaka ba palamenti nga Hellen Nakimuli ow’eKalangala, Abubaka Kawalya owa Lubaga North, meeya we Rubaga Mbeeraze Zacchy Mawula nabalala batenderezza omugenzi.
Omubiri gw’a Ssaabasumba gusuubirwa okutuuka muggwanga ku balaza ya sabiiti ejja.
Ends
RELATED ARTICLES

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Most Popular