Saturday, April 13, 2024
HomeAmawulireBABIRI BAKWATIDDWA LWA ALLAN NE SSEGIRINYA

BABIRI BAKWATIDDWA LWA ALLAN NE SSEGIRINYA

 

Wabaddewo vvaawo mpitewo, poliisi bwebadde erwanagana n’abalonzi ba Makindye West ababadde beekalakaasa nga babanja omubaka waabwe Allan Ssewanyana ali mu kkomera kumpi mwaka mulamba.

Bano mu ngeri yeemu babadde babanja n’omubaka wa Kawempe North Hon Muhammad Sseggiriinya bwebasibwa.

Mu kavuvungano kano poliisi ekutte Kawooya Sharif amanyiddwa nga Kajambiya Moze ne Yasin Ggaliwango ababadde beetuzze olujegere ku muti gw’amasannyalaze.

Bano batwaliddwa ku poliisi e Katwe nga bwebanoonya abalala bonna abadde bakulembeddemu okwekalakaasa kuno.

RELATED ARTICLES

Most Popular