Saturday, April 13, 2024
HomeAmawulireABANTU 50 BAFIIRIDDEWO MBAGIRAWO

ABANTU 50 BAFIIRIDDEWO MBAGIRAWO

AGEBWERU:
Omuliro ogutannategeerekeka kweguvudde ogwakutte mu kibuga Johannesburg ekya South Africa, gusse abantu 50 n’abasoba mu 40 basigadde n’ebisago ebyamaanyi.
Abamya mooto bagezezzaako okulwanagana n’omuliro naye babadde abasiwa nsaano ku mazzi!
Emirambo girabiddwako nga gigangalamye ku mabbali ng’enguudo, songa abakoseddwa baddusiddwa mu malawliro okufuna obujjanjabi.
Kigambibwa nti omuliro guno gutandikidde mu kizimbe ekimu eky’emyaliiro etaano naye ekituufu kweguvudde tekinnazuulwa.
Kano keekamu ku butyabaga obwamaanyi obuzze bugwira South Africa nemufiiramu abantu abangi omulundi ogumu.

RELATED ARTICLES

Most Popular