Wednesday, September 28, 2022

Ababaka bakabondo ka Buganda nga bakulembeddwa Ssentebe waabwe Muhammad Muwanga Kivumbi bakyaddeko mu maka gabantu abenjawulo abattibwa ab’ebijjambiya nebabasaasira n’okubagumya nti Paalimenti tetudde ku kunoonyereza ku ttemu lyebijjambiya elisusse e Masaka n’okumanya abali emabega waalyo.

Bano batuseeko mu maka ga webattira Namukadde Annet Nampijja 65 kukyaalo Kasaali mu divizoni ya Kimaanya-Kabonera mu kibuga Masaka kwossa kukyaalo Kyooko mu disitulikiti ye Lwengo webattira Namukadde Henry Kilembwe era ngeeno begattiddwako naakulira oludda oluvuganya Gavt.neboongera okuteeka bekikwatako ku nninga ku kuziika ekiri emabega wettemu lino. Bano bataddeko nekimuli webaziika Mzee Kilembwe nokuwa amataaba eri abafamire.

RELATED ARTICLES

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Most Popular